Omuyimbi Dr. Jose Chameleone abikudde ekyama ku nkolagana ye ne Bebe Cool mu kisaawe ky’okuyimba ng’abayimbi.

Bangi ku bannayuganda bagamba nti Chameleone ne Bebe Cool tebalima kambugu era mu kiseera kino Chameleone wa kibiina kya Democratic Party (DP) n’ekisinde kya People Power ate Bebe Cool musajja wa  National Resistance Movement (NRM) era muwagizi nnyo wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

Wabula Chameleone agamba nti Bebe Cool abadde mukwano gwe emyaka egisukka 20 era amuwa ekitiibwa kuba mukulu we ate singa ye ne Bebe bakwatagana bulungi, kye kisinga okuwa abantu essanyu.

Kinnajjukirwa nti mu 2016, Bebe Cool ne Chameleone bebamu ku bayimbi abaali mu luyimba lwa “Tubonga Naawe”, Pulezidenti Museveni lwe yakozesa mu Kampeyini mu ggwanga lyonna.

2021, Chameleone agamba nti alina okwesimbawo ku bwa Loodi Meeya bwa Kampala okuggya Ssalongo Erias Lukwago mu ntebbe kuba gunno omulembe gwa bavubuka kukwata buyinza.

Eddoboozi lya Chameleone