Omulamuzi wa kkooti enkulu Jane Francis Abodo aliko omusajja gwasindise ku limanda mu kkomera e Luzira ku misango gy’okusobya ku mwana omuto, myaka ebiri (2) egy’obukulu.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, Isaac Kirinya myaka 27 nga 31, Ogwomusanvu, 2017 yasobya ku mwana wa neyiba e Nansana ku Yesu Amala mu disitulikiti y’e Wakiso.
Kirinya abadde ku limanda mu kkomera e Luzira okuva 2017.
Mu kkooti bw’aleeteddwa, yegaanye emisango egimuguddwako egy’okujjula ebitanajja, omulamuzi kwekusalawo, omusango okuddamu okuwulirwa nga 7, October, 2019 era Kirinya azziddwa ku limanda.
Ku lunnaku olwo, abajjulizi abalumiriza Kirinya okusobya ku mwana wa neyiba, lwe bageenda okuletebwa.