Poliisi y’e Mpigi ekoze ekikwekweto nekwata abasajja babiti (2) abagambibwa okwenyigira mu kubba pikipiki mu bitundu okuli Mityana, Mpigi ne Butambala.

Abakwatiddwa kuliko Joseph Gataya myaka 28, makanika wa pikipiki era asangiddwa ne Pikipiki ezigambibwa nti nzibe 3 ne Joseph Nsubuga 37 nga mutuuze ku kyalo Bbume mu disitulikiti y’e Mpigi.

Pikipiki emu, esangiddwa ng’ebikiddwa mu buliri bwa Nsubuga era bwe batuusiddwa ku Poliisi beewunyisiza abasirikale nga buli omu alumiriza munne okwenyigira mu kubba.

Poliisi ebakunyizza era oluvanyuma Nsubuga akirizza okubba pikipiki ebbiri (2) mu bitundu bye Mityana ne Butambala naziwa mukwano gwe Gataya okunoonya abaguzi.

Poliisi egamba nti okukwatibwa, kigenda kuyamba nnyo okunoonya akabondo kaabwe akegumbulidde okubba pikipiki n’okutta bananyinizo mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.