Omulamuzi wa kkooti esokerwako e Mukono Patience Koburunga asalidde omukyala Annet Namata eyaliisa omwana wa muggya we, omusaayi okuva mu nsonga z’ekikyala ng’agutabudde mu nva, okusibwa emyaka ebbiri (2).

Omulamuzi bw’abadde awa ensala ye agambye nti Namata yakirizza omusango nga 7, August, 2019 naasaba ekibonerezo ekisamusaamu kuba alina abaana basatu (3) baalina okulabirira.

Omulamuzi Koburunga asinzidde ku nsonga ezo, okusiba Namata emyaka ebbiri (2) mu kifo kye myaka omusanvu (7).

Kinnajjukirwa nti Namata nga 6, June, 2019 ku kyalo Kitega Wantoni, yawa omwana wa muggya we, omusaayi okuva mu nsonga z’ekikyala ng’agutabudde mu nva z’ebinyebwa.

Omwana yatemya ku kitaawe, omukyala Namata baakwatibwa wabula abamu ku batuuze mu disitulikiti y’e Mukono bagamba nti okusiba Namata emyaka 2, kigenda okuwa omwagaanya abakyala abalala okutulugunya abaana.