Kyaddaki omugagga Suleiman Kabangala Mbuga amanyikiddwa nga SK Mbuga alangiridde okuwanika ebbango oluvanyuma lw’okuva mu kkomera mu ggwanga erya Sweden.
SK Mbuga yakwatibwa e Dubai bwe yali agenze ku mirimu gy’obusuubuzi n’aggulwako omusango gw’okufera Omuzungu gwe yasuubiza okuguza zaabu kyokka n’atakikola.
Mbuga amaze ebbanga lya mwaka mulamba n’emyezi mwenda nga attuunka mu misango gy’obufere egizze gimuggulwako.
Yatwalibwa e Sweden nga kigambibwa nti ng’ali wamu ne mukyala we, Angela Vivienne Chebet beekobaana ne bafera Omuzungu ayitibwa Sten Heinsoo enzaalwa ya Sweden obukadde 53 eza Sweden eziyitibwa Kronor (mu za Uganda zisukka obuwumbi 23) mu ddiiru y’okumuguza zaabu.
Sten eyasingisibwa edda omusango gw’okubulaakkanya ssente za kkampuni ya Einar Matsson Estate gye y’ali akolera (mwe yaggya ssente) n’asalirwa n’ekibonereezo kya kusibwa emyaka 4.
Mu kkooti mu ggwanga erya Sweden, SK Mbuga yawangudde emisango gy’obufere egyamuggulwako era ku lunnaku Olwomukaaga nga 28, September, 2019 yakomyewo mu Uganda.
Bw’abadde ayogerako naffe agambye nti “Bamafia baagala kubba mmaali yange era y’emu ku nsonga lwaki banzigulako emisango emijweteke naye tebagenda kunsobola”.
SK Mbuga mu ngeri y’emu agambye nti essaawa yonna agenda kuyingizaawo ennyonyi mw’agenda okutambulira kuba ‘Bamafia’ abatamwagaliza abaagala okumwonoonera erinnya beeyongedde obungi era essaawa atuuse okuyita waggulu, erinnya SK Mbuga liyite mu banga ku nnyonyi.
Agamba nti wadde abadde musibe emyaka egigenda 2 akyalina ssente era polojekiti ze zonna zigenda kuddamu okutambula.
SK Mbuga singa ayingizaawo ennyonyi, kabonero akalaga nti banne okuli Bryan White, Don Nasser ne Sipapa aba abalese ku ttaka ne mmotoka zaabwe.