Kyaddaki Pasita Aloysius Bugingo owa House of Prayer Ministries e Makerere Kikoni asabye Suzan Makula obufumbo bwe yabadde mu kisaawe Namboole mu kusabira eggwanga sabiti ewedde ku Lwokutaano nga 4, October, 2019.
Pasita Bugingo wadde kkooti tenaba kumwawula ne mukyala we Teddy Naluswa Bugingo, alaze nti ye alina omukyala omulala ali mu birowoozo bye Suzan Makula.
Bangi ku bantu baabadde balindiridde Pasita Bugingo okubalaga omukyala mu lwatu nga bali mu kusaba e Namboole kyokka yasinzidde mu kisenge omwabadde abamu ku bagandabe, okusaba Makula obufumbo.
Ng’omusajja omulala yenna, Pasita Bugingo yafukamidde ku maviivi okusaba Makula obufumbo ng’akabonero akalaga nti mwetegefu okumukuba embaga, okusobola okuwona ennyonta ya laavu.

Mu kusaba, Suzan obwedda ali wamu ne bannyina ba Bugingo era obwedda bazinira wamu n’okwekuba obwama.
Okusaba era kwetabiddwamu bazadde ba Bugingo okuva mu ggwanga erya Rwanda okuli nnyina Jane Bugingo ne kitaawe nga naye ye Aloysius Bugingo.
Abazadde baategezezza nti Bugingo baamuzaalira Masaka gye baali babeera wabula baamuleka muto ne baddayo e Rwanda.
Taata wa Bugingo yayogeddeko eri abantu n’abategeeza nti Bugingo Munnayuganda bwoya kubanga baamuzaalira mu ddwaaliro e Masaka nga 28, July , 1970 era mu kiseera kino awezeza emyaka 49.
Pasita Bugingo alina abaana 4 ne Teddy mu myaka 29 kyokka mu kiseera kino ali mu kkooti ayagala bawukane kuba ye ssi musanyufu mu bufumbo era kigambibwa yesuunga kuwasa Suzan Magala.