Kyaddaki omuyimbi Eddy Kenzo alaze ensi nti Rema Namakula mukazi we mu mateeka wadde yafunye omusajja omulala Dr. Hamza Sebunya eyakyadde ewa Ssenga e Naguru sabiti ewedde.
Rema agenda kwanjula Dr.Sebunya mu bazadde be nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwa Masaka.
Rema ne Kenzo baazaala omwana Amaal era yabadde ku mwanjo mu nsonga zonna mu kukyala kwa Dr. Sebunya ewa ssenga wa Rema ku mukolo ogwabadde mu maka g’omugenzi Godfrey Mabirizi e Nagulu ku Lwokusatu.
Wabula kenzo asobodde okufulumya vidiyo ku nsonga za Sheikh Nuhu Muzaata okumulumba n’amuvuma ku mukolo mu maaso g’omwana we Aamal n’okugamba nti Rema awonye ‘bu Love Nigga kuba tebuwasa’.
Kenzo agamba nti, “simanyi kiki Muzaata ky’anjagaza kubanga azze anvuma mu ngeri ez’enjawulo. Ku mukolo gwa Rema yanfudde mboozi n’anvuma ng’omwana wange awulira buli kimu. Muzaata musajja mukulu ate munnaddiini era mmuwa ekitiibwa kyokka simanya kyanjagaza kuba nze ne mukwano gwange tuli bawoowe, batuwoowa ku mazaalibwa ku mwana waffe Aamal ey’emyaka ebbiri (2)“.
Ebigambo bya Kenzo okugamba nti mukwano gwabwe tuli bawoowe, kabonero akalaga nti Rema akyamwetaaga mu bulamu bwe wadde yamusuddewo.