Bya Nakaayi Rashidah

Abayizi 2,923 bebagenda okuttikirwa ku yunivasite ya Kampala University sabiti eno ku Lwokusatu nga 7, March, 2018 ku ttabi lyabwe ekkulu e Ggaba.

Ku mulundi gunno, abayizi 1,679 balenzi (57.41%) ate 1,244 bawala (42.49%) nga bagenda kufuna ebbaluwa ezenjawulo omuli Diguli, Dipuloma ne satifiketi.

Ku baana abagenda okuttikirwa, 1,935 bannayuganda (66.22%), 272 bannansi ba Somalia (9.45%) 186 bannansi ba Kenya (6.37%), 183 ba Rwanda (6.26%), 142 okuva mu Nigeria (4.86%) ate 17 okuva mu ggwanga erya Burundi (2.87%).

Abalala 2 bava mu ggwanga erya Ethiopia (0.58), 1 ava mu ggwanga erya Guinea (0.03%) nga ne mu ggwanga erya Congo balina omwana 1 (0.03%).

Al-Haj.Prof. Badru Kateregga
Al-Haj.Prof. Badru Kateregga

Okusinzira kw’amyuka Chansala Owek.Amb.Al-Haj.Prof. Badru Kateregga, abayizi abagenda okufuna ebbaluwa zabwe bagenda kuva ku matabi gabwe omuli Ggaba, Luweero, Masaka, Jinja, Mutundwe ne City Campus ku Old Kampala.

Hon. prof Mondo George Kagonyera
Hon. prof Mondo George Kagonyera

Mungeri y’emu agambye nti ku lunnaku olwo, n’amyuka Chansala omuggya Hon. prof Mondo George Kagonyera lw’agenda okutuzibwa mu ntebbe.