Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Wilson Kwesiga aliko “crime preventer” gwasindise mu kkomera e Luzira okusibwa obulamu bwe bwonna lwa kutta muntu.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Salama Nabbosa, nga 22, February, 2017, Bogere Ssenoga yatta Dius Sekimpi Lazaro ku Yesu Amala mu tawuni kanso y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso ng’amulumiza okubba balubu y’amasannyalaze.
Kigambibwa ku lunnaku olwo, omukyala Irene Namwanje nannyini bbaala emu mu kitundu ekyo, yatuukirira Ssenoga okumuyamba ku Sekimpi ku by’okubba baluba.
Ssenoga yakwata Sekimpi naamukuba ekyavaako okufa kwe nga tanaba kumutwala ku Poliisi.
Mu kkooti, omulamuzi Kwesiga agambye nti Ssenoga yatendekebwa okutangira emisango nga kiswaza omuntu omutendeke alina okutangira emisango ate okwenyigira mu kutta omuntu.
Amusalidde okusibwa obulamu bwe bwonna mu kkomera e Luzira n’okuba eky’okulabirako eri ba crime preventer abalala ssaako n’abantu bonna abatwalira amateeka mu ngalo.