Kyaddaki Eddy Kenzo abikudde ekyama, nti Omutonzi yekka, yaalina obuyinza, okuggya omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni mu buyinza.

Kenzo agamba nti tewali bukulembeze butava eri Katonda, era abantu bonna balina okuwa abakulembeze ekitiibwa, abatekebwawo Omutonzi okulembera eggwanga.

Bw’abadde asisinkanyeko bannamawulire ku Mestil hotel Nsambya, Kenzo agamba nti yabadde alina okugeenda eri omukulembeze w’eggwanga, okumuwa ekitiibwa ng’omuntu omukulu, eyatekebwawo Omutonzi, okulembera Uganda.

Kenzo agamba nti ye ssi munna byabufuzi era abamwogerako ebijweteke nti yegasse ku National Resistance Movement (NRM) mbu yabaliddemu olukwe, banuuna ku vvu.

Mungeri Kenzo agambye nti okugenda mu State House yasobodde okusakira ekisaawe ky’okuyimba kuba Pulezidenti Museveni yasuubiza okubawa ssente okukwata vidiyo.

Eddoboozi lya Kenzo