Abayimbi abakyala mu Uganda balondeddwa okuvuganya ku ky’omukyala mu Uganda asinga okwambala obulungi eri abawagizi mu ‘Award’ za Abryanz Style and Fashion Awards.
Abayimbi okuli Lydia Jazmine, Spice Daina, Vinka, Pia Paunds, Nina Roz ne Recho Rey bebavuganya kyokka omu yekka yageenda okuwangula.
Emikolo gitwaliddwa ku Serena mu Kampala nga 13, December, 2019.
Ate abayimbi abakyala mu Africa, abavuganya ku basinga okwambala kuliko Vanessa Mdee okuva e Tanzania, Tiwa Savage okuva e Nigeria, Thulo Boity e South Africa, Souhila Ben Lachab okuva e Algeria.
Abalala ye Muthoni Drummer Queen okuva e Kenya ne Yemi Alade okuva e Nigeria.
Ku mulundi gunno, abayimbi omuli Sheebah Kalungi, Rema Namakula, Winnie Nwagi n’abalala basuuliddwa ttale ku ky’abakyala abasinga okwambala obulungi mu Uganda.