Poliisi n’amaggye, bakazuula emirambo 4 ku Lake Albert mu disitulikiti y’e Kagadi oluvanyuma lw’akabenje k’eryato, olunnaku olw’eggulo ku Makya.
Emirambo esatu (3) gizuuliddwa enkya ya leero, nga kivudde ku batuuze okuyambako abazinya mwoto okunoonya abantu baabwe.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Albertine, Julius Hakiza, emirambo gyonna gitwaliddwa ku kizinga kye Kamina nga Poliisi bwenoonya ebigikwatako.
Ku lyato ly’abantu 18, abagudde mu nnyanja ku ssaawa 1 ey’okumakya g’olunnaku olw’eggulo, abantu 12 baasimatuse okufa nga basobodde okuwuga n’okutaasibwa, ate ku 6 abagambibwa nti bafiiridde mu nnyanja, Poliisi n’amaggye bakazuulako emirambo 4.
Eryato lyabadde liva ku mwalo gwe Ndaiga okudda mu ggwanga erya DR Congo kyokka lyakubiddwa omuyaga okumpi n’omwalo gwe Kamina.
Okunoonya emirambo gy’abantu 2 kukyageenda mu maaso mu kiseera kino.