Mu kiseera nga bangi ku bannayuganda bakyebuuza lwaki Rema Namakula yasuulawo Edde Kenzo oluvanyuma lw’emyaka 5 nga balina n’omwana, nate Kojja Kityo omukugu mu nsonga z’omukwano alambuludde.

Rema yafuna omusajja omulala Dr. Hamza Ssebunya era nga 14, November, 2019, agenda kumwanjula mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka.

Wabula Kojja Kityo agamba nti okugenda kwa Rema, Kenzo yali asemberedde okwetta kuba kyamuluma nnyo omukyala omulungi okumusuulawo wadde musajja alabika bulungi, alina ssente, erinnya n’ekitiibwa mu bantu.

Kojja Kityo agamba nti kirabika Rema ategeera kye bayita okunyumisa akaboozi n’okuwa omusajja essannyu era singa Kenzo abijjukira bwati, alabira ddala nga okugenda kwa Rema tekugenda kuva ku mutima gwe.


Mungeri y’emu agambye nti omusajja wadde olina ssente, olina okuwa omukyala essannyu ly’omu kisenge kyokka Kenzo kyamulema nga Rema yali alina okunoonya omusajja ayinza okumuwa obudde.

Kojja Kityo agamba nti Kenzo alina okukiriza nti omukyala yageenda okusobola okunoonya omukyala omulala kuba talina mukisa gwonna Rema okudda mu makaage.
Mungeri y’emu alabudde Rema nti wadde mukyala Sereebu, alina okuwa omusajja Dr. Ssebunya ekitiibwa okusobola okuwangaza obufumbo bwe.