Omuyimbi Eddy Kenzo omu yekka mu Uganda ne ‘Award’ ya BET akedde kulinnya nnyonyi okwolekera ekibuga Dubai mu United Arab Emirates.

Wadde olunnaku olw’enkya ku Lwokuna, abadde mukyala wa Kenzo Rema Namakula agenda kwanjula bba omuggya Dr. Hamzah Ssebunya mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka, Kenzo abadde talina kaadi emutwala ku mukolo kuba teyayitiddwa.

Mu kibuga Dubai, Kenzo alina ekivvulu ku Lwokutaano nga 15, November, 2019 ekya One Africa Music Fest ku Festival Arena mu kibuga Dubai n’abayimbi abalala okuva mu mawanga ag’enjawulo mu Africa.

 

Wabula wadde afulumye eggwanga, Dr. Hamza yetegese bulungi ddala, olunnaku olw’enkya, kabite we Rema okumwanjula mu bazadde era ye mu kiseera kino ali kuwawula waaya, okusobola okuwa mukyala we essannyu ng’emikolo giwedde era ku face Book agambye nti, “Nesunze Banange“.