Muwala wa Eddy Kenzo, Aamaal Musuuza alaze nti simwetegefu kufunayo kitaawe mulala wadde nnyina Rema Namakula olunnaku olw’eggulo, yayanjudde bba Dr. Hamzah Ssebunya mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka.
Aamal alina emyaka 5 era y’omu ku baana ababuuzizza abagenyi wakati mu ssannyu okuva ku njuyi zombi olwa Rema ne Hamzah.


Wabula Aamal bwe yabadde awayamu naffe mu maaso ga kkamera yagaanye okuyita Hamzah taata wadde mu kiseera kino alina kumuyita taata kuba yatutte nnyina mu butongole era ng’omwana omulala yenna, yandibadde ayita Hamzah taata okusobola okumuwa ekitiibwa.

Aamal yagambye nti, “that’s my uncle not daddy and I love him“. era ebigambo bye, biraga nti Dr. Hamzah amwagala nnyo kyokka akimanyi bulungi nti si kitaawe.