Ekitongole ekitwala ekisaawe ky’okuyimba mu ggwanga erya Tanzania ekya Baraza la Sanaa la Taifa (Basata) kiyimiriza omuyimbi Rosa Ree okuyimba okumala ebbanga lya myezi mukaaga (6).

Abakulu mu kitongole ekya Basata, bagamba nti oluyimba lwa Rosa Ree ne muganzi we Timmy Tdat okuva mu ggwanga erya Kenya olwa “Vitamin U” lumenya amateeka g’egwanga erya Tanzania.

Mu bbanga lya myezi 6, Rosa Ree takirizibwa kuyimba mu Tanzania n’ebweru w’eggwanga ate alina okusasula ssente $870 (£675).

Okusinzira ku ssenkulu wa Basata, Onesmo Kayanda, Rosa Ree yasingisiddwa emisango ebbiri (2) omuli okulemwa okutwala oluyimba okulwakeneenya nga tanaba kulufulumya ate okunoonyereza kulaga nti talina ndagano ne Timmy Tdat okuba ava mu nsi ndala.

Ebigenda mu maaso mu ggwanga erya Tanzania biraga nti waaya ya Timmy Tdat yalemeseza Rosa Ree okujjukira amateeka agali mu ggwanga lye.