Oluvanyuma lwa Rema Namakula okufuna omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya, nate Kojja Kityo naye avuddeyo ku nsonga za Kenzo lwaki bamusuulawo.
Kojja agamba nti Kenzo musajja alabika bulungi nnyo, alina ssente, alina erinnya  kyokka alina ebintu eby’enjawulo ebyamulema okutuukiriza.

Agamba nti Kenzo wadde sereebu, yalemwa okuwa Rema obudde era abadde alina ennyonta ya laavu.
Mungeri y’emu Kojja Kityo agamba nti Kenzo yakola nsobi okusuula Rema mu maka g’e Sseguku kuba naye mukyala alina omusaayi era kiteeberezebwa Dr. Hamzah Ssebunya yayanguyirwa okufuna laavu ya Rema.

Kojja Kityo alabudde Kenzo okusaba Rema omwana we Aamal wadde akyali muto kuba omusajja Dr. Hamzah okutwala omukyala n’okulabirira omwana, kaba kamanyiro era kabonero akalaga nti wali tosobola famire.