Omuyimbi Rema Namakula addamu okuyimba ekkiro kya leero ku Mariana gardens e Kira era bangi ku bawagizi be bamulindiridde.
Rema abadde mu ‘honey moon’ ne bba Dr. Hamzah Ssebunya ku Chobe Lodge era yavuddeyo enkya ya leero.

Wakati mu mukwano, Rema alangiridde nti azzeemu okuyimbira abantu, “#backtobzness“, ekiraga nti kati amatidde waaya ya Hamzah mu nnaku za 5 zabadde naye ku Chobe.
Mu kiseera kino Rema alaga nti oluvanyuma lw’okusuulawo eyali bba Eddy Kenzo, ali mu ssannyu kuba yafunye omusajja omutuufu ategeera obulungi ensonga z’omukwano.
