Abagoberezi b’omuyimbi Eddy Kenzo bamutabukidde ku mukutu ogwa Face Book olw’ebigambo bye oluvanyuma lw’okulambula amakaage e Sseguku akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.

Kenzo abadde yadduka e Sseguku oluvanyuma lw’okufuna obutakaanya ne mukyala we Rema Namakula kyokka oluvanyuma Rema yavudde mu makaage kuba yabadde afunye omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya era yamwanjudde mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka.

Oluvanyuma lw’emyaka egisukka 2, Kenzo yazzeeyo e Sseguku olwa Rema okugeenda era amangu ddala ku mukutu ogwa Face Book yagambye nti ajjukidde ebintu bingi nnyo mu kulambula ennyumba ye, “I visited seguku today naye baaba memories“.

Wabula abantu batabukidde Kenzo okugamba nti yafunye ebirowoozo bingi nnyo ate nga yasuula Rema e Sseguku emyaka egisukka mwe 2.
Bagambye nti Kenzo yali alowooza nti enju ne ‘Award’ ze ziyinza okuwa Rema essannyu mu bufumbo era alina okukomya okulaga nti yalumiddwa nnyo ate nga yemusobya era bagambye nti.