Munnamawulire Edwin Katamba amanyikiddwa nga MC Kats omukozi ku NBS TV ataddewo likodi empya mu nsi y’omukwano era mu Uganda ye musajja asoose okukikola.
Omwaka 2018, Mc Kats yafuna obutakaanya ne mukyala we omuyimbi Fille Mutoni olw’ebigambo by’abantu oluvannyuma ne bawukana.

Kigambibwa obutesigangana wakati waabwe, y’emu ku nsonga lwaki baayawukana.
Amangu ddala MC Kats yafuna abayimbi abalala okutumbula talenti zaabwe omuli Shammy K wansi w’ekibiina kye ekya Kats Music.

Wosomera bino Fille yazzeemu okukolagana ne MC Kats mu mbeera zonna omuli okutumbula talenti kyokka tekimanyiddwa oba yazeeyo mu bufumbo bwa Kats.
Olw’essannyu, MC Kats alangiridde okukolera Fille konsati omwaka ogujja ogwa 2019 ku Serena mu Kampala okulaga ensi nti mukwano gwe ate maama w’omwana we nti y’omu ku bakyala abayimbi mu Uganda abalina talenti.
Mu Uganda, Mc Kats yasoose mu byafaayo okudingana ne mukyala we naamuwa ekirabo kya bukadde bwa ssente eky’okumukolera konsati okuyoola obukadde n’obukadde bwa ssente mu lunnaku lumu okuyambako okutumbula talenti ye.