Ssenga Kawomera alabudde omuyimbi Rema Namakula kati mukyala wa Dr. Hamzah Ssebunya okwesonyiwa ebya Zari Hassan okusobola okuwangaza obufumbo bwe.

Ssenga agamba nti Rema wadde sereebu ng’alina okulumya taata w’omwana we Eddy Kenzo, kikyamu ddala okutambuliza obufumbo bwe ku mitimbagano gya ‘Social Media’ omuli Face Book, Twitter, Instagram n’emirala.

Bw’abadde ayogerako naffe, Ssenga Kawomera agambye nti, “Rema mwagaliza obufumbo obulungi ate obw’essannyu kyokka alina okukomya okutambuliza obufumbo bwe ku Social Media kuba abantu bangi nnyo abali mu laavu n’okusinga ye bamukeneka. Zari wadde mukyala mulungi nnyo ebintu byamutabukako, obufumbo ne bumulema lwa Social Media“.

Mungeri y’emu agambye nti, “Zari yalemwa obufumbo bwa Ivan Ssemwanga wadde yaffa oluvanyuma lwa Social Media, obwa Diamond Platnumz bwagaana lwa Social Media n’abalala bangi, kati obwa Rema ne Eddy Kenzo ebigambo bibadde bingi nnyo ku Socila Media, mu kiseera kino yafunye omusajja omulala, Dr. Hamzah ebya Socila Media alina okubyesonyiwa kuba obufumbo bwe buyinza okusanawo mu bwangu wadde omusajja amwagala nnyo lwa bigambo ku Socila Media kuba ne Zari yalemwa wadde naye mukyala alabika bulungi nga Rema ate bonna balina erinnya mu bantu“.

Ssenga Kawomera agamba nti Rema amutwala nga muwala we era y’emu ku nsonga lwaki avuddeyo okumulambika ku nsonga z’obufumbo bwe.