Omukyala Zari Hassan ayogedde amazima lwaki yalina okwesonyiwa eyali bba Diamond Platnumz wadde musajja yali mulungi nnyo mu nsonga z’omukwano.
Zari yazaalira Platnumz abaana babiri bokka kyokka mu 2017 baafuna obutakaanya oluvannyuma ne baawukana.
Mu kiseera nga bangi ku bannansi n’okusingira ddala mu East Africa bakyebuuza lwaki Zari yasuulawo Platnumz, nate ensonga ezuuliddwa.

Zari asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okugamba nti buli muntu yenna alina okulwanirira eddembe lye mu mbeera yonna, “Protect your peace at all cost“.
Ebigambo bye biraga nti Platnumz wadde yali musajja mulungi, yali alina okumwesonyiwa kuba yali atandiise okutyoboola eddembe lye.