Omuyimbi Eddy Kenzo alangiridde nti olunnaku olwaleero ku Lwokuna, agenda kukwata vidiyo y’oluyimba Semyekozo.
Ku mulundi gunno, Kenzo ayise bannayuganda bonna abalowooza nti ba Basemyekozo ne Banamyekozo okumwegattako nga bakwata vidiyo e Munyonyo.

Mu kiwandiiko kya Kenzo ku mukutu ogwa Face Book ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero, agambye nti, ”

SEMYEKOZO MUSIC VIDEO SHOOT.

I greet you all in the name of love and thank you my fans for vibing with the song Semyekozo. Tomorrow I’ll be shooting the SEMYEKOZO MUSIC VIDEO and I’m inviting all Semyekozos and Namyekozos who love great music and have a great sense of style to come and let’s have fun together as we shoot the music video.

To be a part of it, it’s pretty simple, dress as though you want to impress your next crush.

LOCATION: SPEKE RESORT MUNYONYO
TIME: 11:00 a.m
AGE: 18 and above.

Tell a friend to tell a semyekozo, to tell a namyekozo!“.

Kinnajjukirwa nti eyali mukyala wa Kenzo, Rema Namakula yeyaleeta ekigambo ssemyekozo mu luyimba lwe Gutujja n’abayimbi ba B2C era mu bigambo bye, yagamba nti, “olina omukwano ogutalina alina, onkoona mubiri magumba nga musekuzo wampa laavu babby wampa kwekkusa, Wamponya bu love nigger bu ssemyekozo“.

Ate mu kukyala kwa Dr. Hamzah Ssebunya ewa Ssenga wa Rema e Naggulu mu October, 2019, Sheikh Nuhu Muzaata yakulisa Rema okuwona bu love nigger bu ssemyekozo kuba tebwagala kuwasa.

Ebigambo bya Muzaata wadde mu kusooka byanyiiza nnyo Kenzo kyokka oluvanyuma yakozeemu oluyimba ‘semyekozo’ okulaga Muzaata nti tasaaga era olunnaku olwaleero, agenda kukwata vidiyo y’oluyimba olwo e Munyonyo.