Father wa Bakatuliki mu kigo kya Kiyinda Mityana ne banne 7 basindikiddwa ku Limanda, okutuusa nga 4, December, 2019 ku misango gy’obutemu era bonna balabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti e Mityana Juliana Kimono.

Rev Fr Lawrence Muduse, John Kulumba Senior, John Kulumba Junior, Jane Nankabirwa Kulumba, Ibrahim Muyingo, Robert Ssenyange ne Fred Kayongo bonna bali ku misango gya butemu.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 7, August, 2019 ku kyalo Minaana mu ggombolola y’e Tamu mu Monisipaali Mityana, Rev Fr Muduse ne banne beenyigira mu kutemula Muhammad Kimbugwe Kamada myaka 50 ku kyalo Minaana bwe yali atambuza ebbaluwa eziyita abapangisa be ku ttaka lye mu lukiiko ogonjoola obutakaanya.

Omulamuzi agaanye bonna 8 okubaako kyeboogera kuba bali ku misango gya naggomola, egiteekeddwa okuwulirwa kkooti enkulu yokka, kwe kubasindika ku limanda okutuusa nga 4, December, 2019 okuwa obudde oludda oluwaabi okufundikira okunoonyereza.

Ettaka ly’omugenzi Kimbugwe, litudde ku byalo 4 okuli Minaana, Kabule, Galabi ne Kamuvole byonna mu ggombolola y’e Tamu mu disitulikiti y’e Mityana era okuttibwa yali awaddeko amaka 8 ku kyalo Minaana, ebbaluwa ezibayita mu lukiiko.

Nga 7, August, 2019 omulambo gwa Kimbugwe gwasangibwa mu kitaba kya musaayi mu nsiko ng’atemeddwa ebiso ebitundu by’omubiri eby’enjawulo.