Pasita Wilson Bugembe owa Light the World Church e Nansana ayise omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni mu kusaba okw’enjawulo leero ku Lwokutaano.
Pasita Bugembe agamba nti asindise okusaba kwe eri Pulezidenti Museveni era singa akiriza okusaba kwe, agenda kweyambisa okusaba gw’olunnaku olwaleero, okumwebaza mu lujjudde ku nsonga y’ebyokwerinda mu bitundu bye Nansana.
Agamba nti mu 2017, abakyala bangi battibwa mu bitundu bye Nansana kyokka olw’ensonga y’ebyokwerinda okunywezebwa, embeera yatereera era abatuuze bakola bulungi emirimu gyabwe.
Mungeri y’emu agambye nti alina abantu ab’enjawulo abaali batigomya Nansana kyokka mu kiseera kino, baweereza mu kkanisa ye oluvanyuma lw’okulokoka, era alina okubanjulira Pulezidenti Museveni olunnaku olwaleero.
Pasita Bugenda era ayise abantu ab’enjawulo omuli bannabyabufuzi, abayimbi ab’enjawulo n’omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White naye ayitiddwa.
Agamba nti Bryan White alina ebizibu ebyenjawulo era alina okumusabira okubiyitamu obulungi mu mbeera yonna.
Ku nsonga eyo akulira Poliisi y’e Nansana ASP Michael Tayebwa agumizza abatuuze ku nsonga y’ebyokwerinda.
Wabula abamu ku bawagizi b’ekisinde kya People Power bagamba nti Pasita Bugembe okwesembereza Pulezidenti Museveni kabonero akalaga nti yeyongedde okubalyamu olukwe.