Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda alangiridde nti omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White akyakaaba nnyo.
Gashumba agamba nti bannayuganda sibaangu era Bryan White yali ayamba abantu kyokka bwe yakwattiddwa Poliisi sabiti ewedde, omugagga Balaam Barugahara yekka yeyagenze ku Poliisi.
Agamba nti mu byafaayo bya Uganda,”teri muntu akasukira bantu ssente, asobola kuwangaza ssente kuba ssente zirina ebisiraani“.

Gashumba alabudde Bryan White okwesonyiwa abantu, akole ebintu ebiyinza okumuyamba kuba akitegedde nti bannayuganda baagala nnyo omuntu alina ku ssente.
Ebigambo bya Gashumba biraga nti ebisiraani bya Ssente, y’emu ku nsonga lwaki Bryan White alina ebizibu era kirabika aweddemu.
Ebigambo bya Gashumba biraga nti ebisiraani bya Ssente, y’emu ku nsonga lwaki Bryan White alina ebizibu.

Bryan White yali akwattiddwa ku misango gy’okufuna emmotoka mu lukujjukujju.
Okusinzira ku omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, ASP. Charles Twine, “Bryan yabalaze nga bwe yagula emmotoka ku Yassah Matovu Seguya n’alaga ne lisiiti za bbanka kyokka baagenze okuzeetegereza nga nkadde zezimu ku ze yakozesa mu kugula emmotoka ezaasooka ate nga z’alaga ng’empya ez’emmotoka ezaasembayo z’ataasasula. Nti kino kye kireetera poliisi okwebuuza oba nga Bryan teyalina kigendererwa kubba Yassah Matovu. Nti n’emmotoka ezoogerwako, tezaagoberera mateeka ga nsi yonna ag’ekitongole kya poliisi y’ensi ekya Interpol ekirina okukakasa nti emmotoka zonna ez’ebbeyi bwe ziba zitambuzibwa mu nsi, kirina okusooka okumanya ebizikwatako n’entambula zaazo“.

Bryan White yakwatibwa kuva mu makage e Buziga mu ggombolola y’e Makindye n’atwalibwa ku poliisi n’emmotoka bbiri ezoogerwako. Emmotoka eyokusatu yalondoddwa n’ekwatibwa ku luguudo lw’e Ntebbe. Buli emu egula obukadde nga 350.

Mu July wa 2018 era poliisi yalumba Bryan White nga kigambibwa nti yali yafuna emmotoka mu bukyamu. Ku olwo eyogerwako yali ya Mercedes Benz Cross Country, Bryan White gye yategeeza nti yagigula ddoola 100,000 mu za Uganda obukadde nga 370 n’asigala ng’abanjibwa era ebbanja lye lyamukwasa ku olwo.