Kyaddaki kkooti y’amaggye e Makindye erangiridde nti abantu 4 abakwatibwa ku misango gy’okutta ba ‘Agent’ ba Mobile Money balina emisango gy’okuddamu.
Abattibwa kuliko Harriet Nalwadda ne Moreen Nakabuubi nga baakubwa amasasi, abatemu abaali ku bodaboda nga 10, Ogwomukaaga, 2019 oluvanyuma ne batwala ssente obukadde 6 n’emitwalo 80 (6,800,0000).
Oluvanyuma, ebitongole ebikuuma ddembe byakwata abantu 4 okuli Bob Anichan eyadduka mu magye ga UPDF, Dennis Mangusho nga naye yaliko munnamaggye, Stanley Mulunda amanyikiddwa nga Jumba Frank nga mutuuze Masanafu ssaako ne Issa Ntale amanyikiddwa nga Ganja ng’avuga bodaboda.
Mu kkooti, ebadde ekubirizibwa ssentebbe Lt General Andrew Gutti agambye nti obujjulizi bwonna obuleeteddwa oludda oluwaabi, okuva mu bantu 16 bulaga nti abavunaanibwa balina okwewozaako.
Abajjulizi abaaletebwa kwaliko bakyala babakwate ssaako n’abasirikale mu kitongole kya Poliisi.
Omulamuzi ayongezaayo okutuusa nga 9, omwezi gunno ogwa December, abavunaanibwa okutandiika okwewozaako.