Gavana wa bbanka enkulu Emmanuel Tumusiime Mutebile alabudde bannayuganda okugaana ssente zonna ezibawebwa nga mpandikeko ne ppeeni ezikunga abantu okulonda Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Robert Kyagulanyi Ssentemu (Bobi Wine) oba Dr. Kizza Besigye mu kulonda kwa 2021 okubindabinda ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga.
Mutebile agamba nti mu Uganda, bbanka enkulu yokka y’erina obuyinza bw’okuwandiika ku ssente sso ssi bantu kuba tekikoma ku kuzonoona mutindo wabula kimenya mateeka, ” kimenya mateeka omuntu yenna okuwandiika ssente oba okussaako obubaka obw’ekika kyonna era abantu balina okuzigaana kuba tekikoma ku kuzonoona mutindo wabula kimenyera ddala amateeka“.

Okusinzira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Mutebile yagambye nti omuntu yenna akwata ssente empandikeko kyangu okuzifiirwa kuba teziba za mutindo gwe zaakolebwako era buli munnayuganda alina okuzigaana kuba ssente kintu ssi kyakuzannyirwako.
Bbanku enkulu okuvaayo, kidiridde ssente okutandika okulabikira ku mikutu gya ‘social media’ nga ziwandiikiddwaako obubaka abantu ab’enjawulo, okukubira abantu baabwe kampeyini.