Omuyimbi Eddy Kenzo avuddeyo ku nsonga z’abasajja abalina omuze gw’okutulugunya abakyala mu ggwanga lyonna.
Mu kiseera kino Kenzo talina mukyala amanyikiddwa oluvanyuma lwa kabite we Rema Namakula okufuna omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya.
Kenzo y’omu ku bayimbi abakutudde ddiiru n’ekitongole ky’obwanankyewa ekya Reach A Hand Uganda okutambula eggwanga lyonna, okusomesa abantu okwewala obutabanguko mu maka.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri yabadde mu kibuga kye Arua n’abakungu ba Reach A Hand Uganda.
Asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okulabula abasajja nti okutulugunya omukyala tekikufuula musajja, bw’agaana aba agaanye, “let’s all remember that being violent towards a WOMAN does not make you a MAN and No means NO!!”.


