Omuyimbi Spice Daina asobodde okuwa muyimbi munne Eddy Kenzo essannyu n’okumugyako ebirowoozo by’okulowooza eyali mukyala we Rema Namakula.
Mu kiseera nga Kenzo anoonya omukyala okudda mu bigere bya Rema, Spice Daina alaze nti mwetegefu singa Kenzo amuwa omukisa.
Mu kivvulu ky’okusiima abantu abasukkulumye ku banaabwe mu kwolesa emisono ku Serena mu Kampala, Spice Daina yalinye ku siteegi ne Kenzo mu ngeri y’okulaga abantu nti bali mu laavu, nga bekutte emikono nga bali mu kkanisa abageenda okugattibwa.
Mu kiro kimu, Spice Daina yakoze ekikolwa ekyalema Rema Namakula ne Kenzo mu ebbanga lyonna nga bali mu bufumbo kyokka Kenzo obwedda amaaso gali ku mutima gwa Spice Daina okwetegereza omutima gw’ebbeere.

