Kyaddaki bba w’omuyimbi Rema Namakula, Dr. Hamzah Ssebunya, avuddeyo ku bigambibwa nti mukyala we (Rema) yatunda emmotoka ze, okusobola okufuna ssente z’ebbanja, ez’ateekateeka omukolo gw’okwanjula.
Rema yayanjula bba Dr. Hamzah mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka era okusinzira ku bantu ab’enjawulo, omukolo gwali mulungi nnyo nga kigambibwa Rema ne Hamzah baatekamu obukadde obusukka mu 500.

Wabula Hamzah agamba nti tekisoboka muntu kutunda mmotoka kuteekateeka mukolo era abantu balina okukomya okusasaanya ebigambo by’obulimba kuba ye tasobola kwewola ssente.
Hamzah akooye okuswala olw’ebigambo by’abantu era agamba nti tewali mmotoka yonna yatundibwa ate baayongeddeko n’endala.

Hamzah okuvaayo, kidiridde ebigambo okuyitingana okuva omwaka oguwedde ogwa 2019 mu December oluvanyuma lw’omukolo nti Rema yali atunda emu ku mmotoka ze kuba yali alina ebbanja lya ssente oluvanyuma lw’okwewola okuteekateeka omukolo gw’okwanjula Hamzah mu bazadde.
Eddoboozi lya Hamzah