Omuyimbi Rema Namakula alangiridde okuddayo okusoma lwa bba Dr. Hamzah Ssebunya okufundikira emisomo gye.
Dr. Hamzah y’omu ku bayizi abaatikkiddwa diguli y’obusawo ku yunivasite y’e Makerere sabiti ewedde.

Rema bwe yabadde ku kabaga ku Lwokutaano, Dr Hamzah ke yategekedde ku Mestil Hotel e Nsambya olw’okufundikira emisomo gye, nga keetabiddwaako abagagga b’omu Kampala okuli ssentebe w’abagagga Kwagalana Godfrey Kirumira n’abalala, yagambye nti naye alina okuddayo okufundikira emisomo gye.
Rema bwe yaweereddwa omukisa okwogera, yagambye nti “honey am so proud of you, weebala kutuuka ku kkula lino, just like I always tell you, you have inspired me, nange nina okuddayo, eno enkofiira nyambadde ya kiwaani, naye mu maaso awo, nja kwambala entuufu, and so because of you“.

Ebigambo bya Rema biraga nti Kenzo yamwononera obudde kuba singa yali ne Hamzah mu myaka 5 gye yamala mu bufumbo bwa Kenzo, yandibadde yaddayo dda mu bufumbo, ekintu ekitasoboka.