Mu kiseera ng’omuyimbi Eddy Kenzo ali mu katale anoonya mukyala omutuufu agwanidde okudda mu bigere bya Rema Namakula, nate yiino ‘List’ y’abakyala abagambibwa nti baaliko mu laavu ne Kenzo, naalemwa okuwa mukyala we Rema obudde.
1 – Pia Pounds.
Kigambibwa, oluvanyuma lwa Kenzo okusayininga Pia Pounds mu kibiina kye ekya Big Talent yamuganza era waliwo obutakaanya wakati we Rema kuba yali akitegedde nti Kenzo ali mu laavu ne Pia Pounds. Mu kiseera kino bombi begaana nti tebabangako mu laavu naye Omutonzi yasiinga okumanya.
2 – Ritah Kaggwa.
Kigambibwa Kenzo yali nnyo mu laavu ne Ritah mu kiseera nga yakatandika okuyimba era mbu buli lwe yageenda mu ggwanga erya Bungereza, yasulanga ne Ritah Kaggwa nga beesanyusa. Mu kiseera kino singa okomyawo ensonga ezo, Kenzo ayinza okutabuka.
3 – Lydia Jazmine.
Emyaka esatu (3) emabega, ebigambo bibadde byogerwa nti Kenzo ne Jazmine baabagala era mbu y’emu ku nsonga lwaki Rema ne Kenzo okutabuka kweyongera okutuusa nga baawukanye.
Mu kiseera kino, waliwo abawagizi ba Kenzo abagamba nti Jazmine ye mukyala yekka agwanidde okudda mu bigere bya Kenzo kuba alina buli kisanyizo (mukyala mulungi, ayimba bulungi ate alabika bulungi).
4 – Tracy Nabatanzi.
Nabatanzi ye mukyala eyasooka okuzaalira Kenzo omwana era tewali kubusabuusa kwonna yamukalakata waaya emirundi egiwera. Kigambibwa wadde baayawukana, tewali kiyinza kumulemesa kuddamu kukuba mmese.
5 – Nalongo Sheila Don Zella.
Kigambibwa nga Nnalongo Sheila Don Zella tanaba kwagala omuyimbi Big Eye, yali mu laavu ne Kenzo kyokka oluvanyuma baayawukana olwa Big Eye okulaga nti asinga Kenzo okutegeera ensonga z’omukwano.
6 – Nahia Sania.
Nahia kigambibwa yaliko mu laavu ne Kenzo mu kiseera ng’ali ku Yunivasite y’e Makerere wabula oluvanyuma lwa Rema okubitegeera, Kenzo mbu yamwesonyiwa mu bwangu okusobola okutaasa obufumbo bwe ne Rema.
Wadde Kenzo yakola ebintu eby’enjawulo okutaasa obufumbo bwe ne Rema, omwaka oguwedde ogwa 2019, Rema yafuna omusajja omulala Dr.Hamzah Ssebunya era nga 14, November,2019 yamwanjula mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka.
Mu kiseera kino Rema ali mu laavu ne bba Hamzah wakati mu ssannyu kyokka Kenzo talina mukyala era ali ku muddaala gw’abanoonya.