Omuyimbi Lydia Jazmine alaze nti wadde talina musajja amanyikiddwa mu kiseera kino, ategeera kye bayita okwekolako saaviisi.
Ku mukutu ogwa Instagram, Jazmine ataddeyo ekifaananyi kyokka ekyewunyisa wabaddewo omuzungu amulingiza.

Jazmine abadde akunamidde ettaka ng’ali mu laavu y’ekifaananyi kyokka Omuzungu alaze nti akubiddwa obulungi bwe era yekwese mu kikondo okumulingiza obulungi.
