Omuyimbi Lydia Jazmine alaze nti naye asajjakudde mu kisaawe ky’okuyimba era ayongedde okuteeka ssente mu kutumbula talenti ye n’okuwa abawagizi be ebintu ebirungi.
Jazmine olunnaku olw’eggulo yafulumizza vidiyo y’oluyimba ‘Nkwateko’ era alaze nti buli lunnaku, ayongera ku mutindo gwa vidiyo ze.
Mu vidiyo, yayambadde bulungi ddala kyokka kigambibwa abasajja abaakutte kkamera mu kiseera ky’okukwata vidiyo, bangi yabalese basabbaladde olw’engeri abazinyi ne Jazmine gye baabadde bayambaddemu.

Mu kiseera kino, Jazmine y’omu ku bawala abato, abakoze nnyo mu kisaawe ky’okuyimba, abakuumye omutindo era abalina abawagizi n’okusingira ddala abakyala kuba y’omu ku bayimba obulungi ennyimba z’omukwano.
Vidiyo