Obwakabaka buwabudde Gavumenti ku ntereeza empya ey’ebyenjigiriza

Katikkiro agambye nti kisaanidde okutereezaamu mu bisomesebwa abayizi kubanga eby’enjigiriza biteekeddwa kubangula bayizi basobole okubaako byebakola nga bizimba eggwanga ekiseera nga kituuse n’ekiruubirirwa okufuna bannansi ababanguddwa obulungi abasobola okukola emirimu egibakulaakulanya n’okulaakulanya eggwanga.

Obwakabaka buvuddeyo n’ensonga nnya (4) zebusuubira nti zisobola okutereezebwa entereeza empya neganyulwa bonna.

1) Essomo ly’ebyobulimi: “Ebitundu 70% bali mu byabulimi ate bali mu byalo. Ebyenfuna bya Uganda okutambula mu ngeri eyannamaddala tulina kutandikira ku byabulimi. Mu mbeera gyetulimu tetusobola kuvuganya ku mutendera gwa saayansi ne tekinologiya n’amawanga agaakula edda naye bwotandikira mu byobulimi ne saayansi ne tekinologiya omutuukako ng’omusingi guli mwekyo kyolinako enkizo. Naye essomo ely’ebyobulimi ssi lyabuwaze eri abayizi. Oba nga eggwanga lisinga kufuna ssente mu mmwanyi, bwoba oyagala okulaakulanya eggwanga essomo ly’ebyobulimi lyandibadde lya buwaze”.

2) Ebyafaayo: “Eggwanga lyonna okutebenkera lilina okutegeera ebyafaayo byalyo abayizi babitegeere mu bwesimbu bwabyo, ebitali byafaayo bya kujingirira, bategeere eggwanga lyebiyiseemu, abayizi bamanye nti tusaana okwekuumira ebirungi byetuyiseemu ate tusaana okwewala ebibi byetuyiseemu. Ng’obwakabaka bwa Buganda, bwoba oyagala okuzimba omwoyo gw’eggwanga osookera mu kumanyisa bantu ebyafaayo byabwe mu bwesimbu bwabyo. Waliyo essomo lyokwagazisa abantu eggwanga “Mwoyo gwa Ggwanga”, naye essomo eryo ssi kkulu okusisnga ebyafaayo, ebyafaayo byebikulu era abantu bwebabitegeera ne Gavumneti neweereza abantu baayo mu bwenkanya, abantu eggwanga lyabwe balyagala. Naye ekyewuunyisa essomo ly’ebyafaayo teryafiriddwako nnyo mu tereeza empya ey’ebyensoma”.

3) Ennimi: “Ezimu nnimi Gavumenti zeyagala zisosowzibwe mu limu Oluchina, naye ate ennimi ennansi tezifiiriddwako. Ffe tulowooza okumanyaa ennimi kya bugagga, naye okumanya ennimi ennansi kya bugunjufu, toyinza kusobola kwogera Oluchina nga tosobola kwogera Luganda neweebala nti oli mubangufu naddala bwoba nga oli Muganda”.

Mungeri agamba nti, “Ekyamazima Oluchina ekirutusomesa sikiraba, mbu kubanga kati abachina balina ssente, emabegako aba Japan bebalina ebyenfuna ebisinga kati olwo twandisomye Lujapan, ate mu myaka 20 abayindi bayinza okusinga Abachina mu byenfuna kati olwo tunaasoma Luyindi. Wayinza okubaawo abasoma oluchina, ennimi nnungi okuzisoma, naye olw’okuba China eri ku misinde gya yiriyiri mu byenfuna ssi nsonga emala ekusomesa oluchina kubanga tewali ngeri luchina gyeruli tuyamba wano mu Uganda okusinga oluganda, abantu abatono basobola okusoma oluchina tujja kubeeyambisa nga tugenze okusuubula e China era abantu abo bajja kutuyamba nga tuleese Abachina okutuzimbira enguudo batapute, naye aba China bonna abajja kuno okukola emirimu tebamanyi lungereza wadde oluganda emirimu, tebajikola? n’abasuubuzi bonna abagenda e China tebamanyi Luchina naye tebasuubula yo?, naye ate tosobola kubeera mu nsi nga tomanyi lulimi lwamu olumaamidde, ggwe obeera wefiiriza, era omuntu yenna ayagala okuyiga ennimi endala, batugamba nti bwoyiga olulimi lwo olunnansi kikwanguyira okuyiga ennimi endala. Awonno okugamba nti omwana waddembe okuyiga oluganda oba obutalusoma kitunafuya nga eggwanga era ssi kituufu. Ffe ng’obwakabaka bwa Buganda tukubiriza abalina amasomero wano mu Buganda basomese olulimi oluganda n’abalala abaagala okulusoma mu matendekero aga waggulu bafunemu degree bagende mu maaso, olulimi kya bugagga naddala olulimi olulwo”.

4) Okusoma ebya Computer/ebyuma bikalimagezi. Mayiga agamba nti “Tuli mu mulembe gwa saayansi na tekinologiya, era President atera okwogera ennyo ku saayansi, naye ebyuma bikalimagezi tekinologiya abirimu yentabiro yenkulaakulana mu nsi mu kyaasa kino n’ekirijja. Awonno ffe tulowooza nti buli mwana yandisomye ebyuma bikalimagzi, bwebisigalira tujja kufuna obuzibu okudduka emisinde tusange abaatusookayo mu byenkulaakulana. Ennaku zino kabubeere bulimi babukolera ku magezi ga saayansi n’ebyuma bikalimagezi,obuvubi, obusuubuzi, obulunzi, omuntu atuula butuuzi ku computer nalagiriza ebintu e China oba e Japan. N’olwekyo emisomo gyebyuma bikalimagezi mikulu nnyo eri abaana bave buto nga babimanyi, era muwulira tukubiriza Gavumenti ebunyise omitimbagano buli wantu, kubanga bwoba obeera eyo mu byalo nga oyina omutimbagano ow’e Kampala talina kyakusinza kubanga osobola okugoberera ebigenda mu maaso mu nsi, ayize ebyuma bikalimagezi asobola okweyambisa omutimbagano”.

Katikkiro era asabye Gavumenti nti nga entereeza empya mu byensoma tennaba kuteekebwa mu nkola mu bujjuvu, erowooze ku ensonga zino baziyingize mu nteekateeka eriwo Uganda esobole okulaakulana.