Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala afulumizza ekiwandiiko, ekiyimirizza omugagga Medard Kiconco okuddamu okusengula abatuuze b’omu Lusanja.

Omulamuzi Henrietta Wolayo alagidde Kiconco okulinda okusengula abatuuze okutuusa nga bafunye okudibamu ku nsonga zaabwe eziri mu kkooti.

Omwezi ogudde, Kiconco yafuna olukusa okuva eri omuwandiisi wa kkooti enkulu Deo Ninzeyimana, okuddamu okusengula abatuuze, asobole okulakulanya ettaka lye.

Wabula abatuuze b’omu Lusanja nga bakulembeddwamu munnamateeka waabwe Nalukoola Luyimbazi baddukira mu kkooti ejjulirwamu nga bawakanya ensalawo y’omulamuzi Tadeo Asiimwe eyali omulamuzi wa kkooti ku nsonga z’ettaka.

Omulamuzi Asiimwe yalagira abatuuze b’omu Lusanja okwamuka ettaka lya Kiconco era ezimu ku nsonga zeyawa, yategeeza nti balyesenzaako mu bukyamu era kimenya amateeka okulibaka.

Olw’abatuuze okujjulira mu kkooti ejjulirwamu, Omulamuzi Wolayo kwasinzidde okulagira Kiconco okuyimiriza okubasengula okutuusa nga kkooti ejjulirwamu ewadde ensala yaayo.