Omuyimbi Cinderella Sanyu amanyikiddwa nga Cindy ayogedde amazima ku kya Sheebah Kalungi okuyimba mu Konsati ye ku lunnaku Olwomukaaga nga 7, March, 2020.
Cindy alina konsati etuumiddwa ‘Boom Party concert’ e Lugogo Cricket Oval era ye mukyala asoose okutwala ekivvulu e Lugogo.
Cindy agamba nti Sheebah yamuwandikidde okumuyita mu Konsati kyokka tanaba kumuddamu.
Mungeri y’emu agambye nti ng’omuyimbi omulala yenna ne Sheebah ayinza okuggya mu konsati ku ssaawa envanyuma era alina esuubi nti agya kuggya.
Cindy era asambaze ebyogerwa nti alina empalana ne Sheebah mu kisaawe ky’okuyimba.
Agamba nti ye ne Sheebah okufulumya ennyimba enungi, y’emu ku nsonga lwaki abawagizi batondawo empalana wakati waabwe.