Poliisi y’e Kayabwe erina omusajja mu kkomera ku misango gy’okusobya ku mwana omuto myaka 4.

Poliisi egamba nti nga 3, March, 2020 ku ssaawa 4 ez’okumakya ku kyalo Lubanda B mu ggombolola y’e Nkozi mu disitulikiti y’e Mpigi, Sseguya Godfrey myaka 21 lwe yasobya ku mwana omuto.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Sseguya yasobya ku mwana bwe yamusanga awaka ng’aliwo yekka, kitaawe yali ali mu kukyaba enku.

Omwana yakuba omulanga era kitaawe yageenda okutuuka nga Sseguya ayagala kudduka okuva mu nnyumba.

Sseguya yakwattibwa, natwalibwa eri ssentebbe w’ekyalo era oluvanyuma omwana yatwalibwa mu ddwaaliro erya Buwama Health Centre 111 okwekebejjebwa n’okufuna obujanjabi.

Enanga agamba nti alipoota y’abasawo eraga nti omwana yasobezebwako era Sseguya mu kiseera kino ali poliisi y’e Kayabwe gye bagenda okumuggya okumutwala mu kkooti ku musango gw’okujjula ebitanajja