Omuyimbi Eddy Kenzo buli lukya alaga nti yeyongera amaannyi mu kisaawe ky’okuyimba.
Mu kiseera kino alina ennyimba 2 okuli Semyekozo ne Tweyagale ezikuba mu buli kifo ekisanyukirwamu kumpi mu nsi yonna kyokka ekyewunyisa mu kkanisa zituuse.

Mu ggwanga erya Bungereza mu bitundu bye Croydon, London, oluyimba lwa Semyekozo lwe lumu kwezo ezikubwa mu kkanisa mu kiseera ky’okusaba, okuwa abantu essannyu.

Kenzo yafulumya oluyimba lwa Semyekozo mu November wa 2019 oluvanyuma lwa Rema Namakula eyali mukyala we okufuna omusajja omulala gwe yayanjula mu bazadde nga 14, November, 2019.
Mu kkanisa, kiraga nti mulimu bangi ku bannayuganda abategeera Oluganda era Kenzo ye muyimbi asoose okufulumya oluyimba okukubwa mu kkanisa mu kiseera ky’okusinza nga oluyimba ssi lwa ddini.

Vidiyo

https://www.instagram.com/p/B9ijd_igWbt/