Mu nsi y’omukwano, buli muntu alina ekimuwa essannyu era y’emu ku nsonga lwaki Rema Namakula yasuulawo Eddy Kenzo okufuna omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya ategeera ensonga z’omu kisenge.

Mu mbeera y’omukwano, kyabutonde buli mukyala alina okutuuka ku ntikko kyokka tewali ddakika oba essaawa eziwandikiddwa okutuuka ku ntikko okusinzira ku bakugu mu nsonga za Laavu.

Ku nsonga z’omukwano, Kojja Kawalya agamba nti waliwo ebintu eby’enjawulo, ebiremesa abavubuka okutuusa abakyala ku ntikko, ekivuddeko obwenzi mu baagalana okweyongera mu ggwanga.

Okunoonya munno. Kojja Kawalya agamba nti omukyala yenna yetaaga obudde okuteekebwateekebwa mu nsonga z’omukwano okusobola okumuteeka obulungi mu mmuudu y’okumusakata waaya obulungi. Kojja agamba nti abasajja balina obwangu tebalina biseera binoonya bakyala baabwe nga bangi batuuka okwegatta nga tebatuuse.

Ebirowoozo. Mu nsi y’omukwano, omuntu yenna singa yegatta ng’alina ebirowoozo tanyumirwa era singa omusajja yenna asindikiriza omukyala okwegatta ng’alina ebirowoozo, aba alina ebitundu 20 ku 100 okumutuusa ku ntikko.

Obukyafu. Kojja agamba nti waliwo abakyala abakyafu ng’abamu balemwa n’okuyonja ebintu by’ekyama ekivaako omusajja okulemwa okumunoonya obulungi kuba abamu bavaamu akasu. Agamba nti singa omukyala avaamu akasu, omusajja ayinza okwegatta ye okwesanyusa wabula ssi kuwa muganzi we ssanyu.

Okulowooza ennyo ku kaboozi. Kojja agamba nti singa omusajja yenna alowooza ennyo ku kaboozi nga talina mukyala, singa afuna omukyala, atwala wakati w’eddakika 3 – 5 okumala era aba talina biseera kunoonya mukyala era ekyo kivuddeko abasajja bangi okulemwa okutuusa abaana abawala ku ntikko.

Obutekiririzaamu! Abasajja abamu balina endowooza egamba nti obunene bwa waaya bulina kye bukola okutuusa omukyala yenna ku ntiiko wabula Kojja Kawalya agamba nti abasajja balina waaya mu sayizi ey’enjawulo era buli sayizi yonna esobola okutuusa omukyala ku ntikko singa otegeera enkozesa yaayo ng’oli mukwano.

Empuliziganya! Kojja Kawalya agamba nti mu kaboozi, omusajja yenna alina okuwuliziganya ne mukyala we kuba singa tebaawo, omusajja ayinza okulemwa okutuusa kabiite we ku ntikko. Kojja agamba nti empuliziganya tategeeza kukubira munno ssimu wabula omukyala oba omusajja okutegeeza munne ekifo ekisembeza obwagazi.

Obukoowu! Kojja agamba nti abasajja bangi bakola emirimu gy’amaanyi era batuuka awaka nga bakoowu, ekiviriddeko okulemwa okutuusa abakyala ku ntiiko kuba tebalina biseera kwewuuba.

Batabani baange, olunnaku olw’enkya, Lindirira ensonga endala ku lw’okusinda obulungi omukwano……..