Gavumenti mu ggwanga erya Kenya erangiridde nti efunye omuntu ow’okuna eyalwadde obulwadde bwa Covid-19 obusasaanyizibwa akawuka aka coronavirus.
Okusinzira ku Ssaabawandiisi mu Minisitule y’ebyobulamu Mutahi Kagwe, omulwadde azuuliddwa mu ddwaaliro ery’obwananyini.
Kagwe agamba nti omulwadde Ow’okuna yavudde mu ggwanga erya Bungereza mu kibuga London era yatuuse mu ggwanga erya Kenya sabiti ewedde ku Mmande nga 9, March, 2020.
Kiteeberezebwa nti alina abantu bayinza okuba nga yasiize obulwadde era okulondoola kutandikiddewo.
Mu ggwanga erya Kenya abantu 111 bakebeddwa abateeberezebwa nti balina obulwadde okuva ku ntandiikwa y’omwezi guno Ogwokusatu, 71 bazuuliddwa nga tebalina bulwadde, 36 bakyekebejjebwa ate abantu 4 bazuuliddwa nga balwadde.
Obulwadde bwatuuka mu Kenya sabiti ewedde ku Lwokutaano nga 13, omwezi guno Ogwokusatu.
Mu nsi yonna abalwadde abasukka 168,000 ate abaakafa bali mu 6,610.