Omuyimbi Lydia Jazmine alaze nti y’omu ku bakyala abayimbi abalina omubiri omulungi abasikiriza abasajja mu mbeera zonna.
Jazmine agamba nti alina emyaka 29 era y’omu ku bayimbi abakyala abayimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ze omuli Ebintu Byange, Masuuka n’endala.

Mungeri y’okulaga nti alina omubiri omulungi, atadde ekifaananyi ku mukutu ogwe ogwa Instagram nga yefungudde ku lubuto okulaga ebintu n’okusingira ddala ekkundi n’assa abavubuka amabbabbanyi.

Mu kiseera kino Jazmine talina musajja amanyikiddwa era kigambibwa akola ebintu eby’njawulo omuli n’okulaga omubiri gwe kuba akooye omuddaala gw’abanoonya.
Abamu ku bawagizi b’omuyimbi Eddy Kenzo bagamba nti Jazmine ye muwala agwanidde okudda mu bigere bya Rema Namakula kuba naye alina buli kimu ate muwala alabika bulungi.

Rema eyali kabiite wa Kenzo yafuna dda omusajja omulala Dr. Hamza Ssebunya era yamwanjula mu bazadde nga 14, November, 2019.
Kenzo ne Jazmine bonna banoonya tewali alina musajja wadde omukyala.