Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga ayimirizza emikolo gyonna egikungaanya abantu abangi mu Buganda okutuusa nga ennaku, gavumenti zeyalangiridde okwetangira kirwadde kya Coronavirus ziweddeko.

Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Museveni yalangiridde ennaku 32 bannansi okuba ku bwerinda mu kwetangira ssenyiga we China COVID-19 aleetebwa akawuka aka coronavirus.

Museveni yaggadde amasomero, amatendekero aga waggulu, amasinzizo, ebifo ebisanyukirwamu omuli amabaala, okuyimiriza ebivvulu, enkungaana nga byonna bikolebwa okutangira ekirwadde.

Mu Buganda, emikolo egiyimiriziddwa kuliko Amazaalibwa ga Kabaka, emisinde gy’amazaalibwa, emizannyo gy’abaana, olukiiko lwa Buganda n’emikolo emirala.

Katikkiro Mayiga mu kwogerako eri bannamawulire ku Bulange e Mmengo enkya ya leero agambye nti ku lunnaku lw’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka nga 13/April/2020, tewali mukolo gwakujaguza mu lutikko e Rubaga nga bwe kyali kitegekeddwa wabula wakweyambisa emikutu okuli Ttiivi ne Leediyo okuwa abantu, obubaka bwa Ssaabasajja obw’ amazaalibwa.

Katikkiro Mayiga ategezezza nti ekirwadde kya Covod-19 bwe kuli okusoomozebwa okunene eri Buganda ne Uganda era asabye abantu okusigala nga balamu basobole okulakulanya Buganda ne Uganda, nga bayita mu kwekuuma.

Mukuumaddamula Mayiga alabudde abantu ba Maaso Moogi nti ssenyiga we China mukambwe nnyo okusinga ku bulwadde obulala omuli Kkansa, Siriimu n’obulala era bannayuganda bonna balina okwekuuma ennyo.

Mungeri y’emu alabudde abantu okukomya okutambula n’okusingira ddala abaana, abakyalira ku bazadde baabwe ku byalo ku buli wikendi.

Katikkiro agamba nti okukyalira abazadde kulungi nnyo naye bayinza okutwalira abazadde obulwadde ate nga bakuliridde mu myaka, ekiyinza okuletera obulwadde okubakosa ennyo singa butuuka mu Uganda.