Kyaddaki omuyimbi Bruno K afulumizza vidiyo y’oluyimba ‘Faridah’ era alaze nti ddala musajja mekete.
Mu Uganda, Bruno K ye muyimbi asoose mu byafaayo okuteeka Faridah Nakazibwe owa NTV mu vidiyo wakati mu kulaga nti ali mu laavu naye.

Mu vidiyo, Bruno K alagidde ddala nti ali mu laavu ne Nakazibwe era asobodde okuteeka akifaananyi kye mu kifuba wakati mu laavu, okuggyayo amakulu ga vidiyo.

Mungeri y’emu, asobodde okweyambisa ebifaananyi eby’enjawulo mu vidiyo ebya Nakazibwe okulaga abantu nti ddala mwana muwala ali ku mutima gwe.
Bruno K agamba nti ye mukwano gwa Nakazibwe era tewali nsonga yonna lwaki ayinza okugaana okuba mu vidiyo ze.