Abawagizi ba Faridah Nakazibwe munnamawulire ku NTV basobeddwa era bangi bakyebuuza oba ddala kituufu mwana muwala bamukubye embaga.

Faridah atadde ekifaananyi ku mukutu ogwa Instagram ng’ali mu kadaali, kwekutegeeza abawagizi be nti, “#sorrycorona” era bangi basigadde basobeddwa.

Wabula abantu bavuddeyo mu bwangu okwebuuza oba ddala kituufu Faridah yakubiddwa embaga mu nkukutu.

Abamu bagambye nti, ” Bambi dont leave us guessing….tugya kusibako e kigambo, So gwe u’ve decided to do yo wedding in this season…toyagala tukulire mmere…kale maama, So u mean u didnt hear the president say tewali mikolo@fsnakazibwe18“.

Ebigambo by’abantu biraga nti Faridah muntu w’abantu era balina okumanya buli kimu ekimukwatako.