Abasawo mu ggwanga abegattira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Medical Association (U.M.A) basabye Minisitule y’ebyobulamu okuyingira mu nsonga zaabwe ezibanyigiriza mu kiseera kino.
Abasawo nga bakulembeddwamu Ssabawandiisi w’ekibiina kyabwe Dr. Mukuzi Muhereza banokoddeyo ensonga 4 omuli okutulugunya abasawo, bangi bakwattiddwa Poliisi nga bageenda ku mirimu gyabwe mu kiseera kya Kafyu okuyamba abalwadde ssaako n’okubatimpula emiggo.

Ensonga endala kuliko okubalemesa okufuna sitiika ezibakiriza okutambula okugeenda mu malwaliro, ba RDC abamu okubasaba ssente emitwalo 2 (20,000) okufuna sitiika ku disitulikiti nga n’abasawo abamu tebalina bikozesebwa okutambuza emirimu gyabwe, ekiyinza okubaviirako okulwala.
Dr.Mukuzi agambye nti waliwo omusawo ali ku ddaala lya Senior House Officer (SHO) eyakubiddwa Poliisi ne LDU ku bypass mu Kampala bwe yabadde ava ku ddwaaliro lya Kawempe National Referral Hospital okulongoosa omulwadde.

Wabula Minisita omubeezi ku nsonga z’ebyobulamu Robinah Nabbanja ku nsonga ya RDC abamu okusaba ssente, alabudde abasawo okuwaayo ba RDC abali mu kikolwa ekyo, okusinga okusiiga enziro ba RDC bonna mu ggwanga.
Ate ku nsonga y’okutambula obudde obw’ekiro ne bakwatibwa n’okukubwa emiggo, Minisita Nabbanja agambye nti abasawo, tebalina kutambula kiro.
Minisita Nabbanja agamba nti mu kiseera kino ekya Kafyu ng’emu ku ngeri y’okutangira Corona Virus okusasaana, abasawo balina kutambula misana oba okugenda ku malwaliro nga bukyali.
Eddoboozi lya Minisita Nabbanja