Pulezidenti w’eggwanga erya Kenya Uhuru Kenyatta, alagidde Minisitule y’ebyemizannyo n’eby’obuwangwa okuwa abayimbi obukadde 100 eza Kenya okubayambako mu kiseera kino ekya Corona Virus.

Bw’abadde ayogerako eri eggwanga, Kenyatta agambye nti ssente obukadde 100, zigenda kuyamba abayimbi ne bannakatemba okuyiiya ennyimba ssaako n’emizannyo, okusanyusa abantu mu kiseera kino ssaako n’okubazaamu esuubi, nga bayita ku Leediyo, Ttivvi ssaako n’emitimbagano gya yintanenti.

Mungeri y’emu Kenyatta alangiridde nti n’okutandika sabiti eno, abayimbi bonna abayimbira awaka, bagenda kufuna omusaala gwa bukadde 200 eza Kenya buli mwezi ng’omwaka, Gavumenti erina okubawa Biriyoni 2 eza Kenya.

Webuzibidde olwaleero nga mu ggwanga erya Kenya omuwendo gw’abantu abalwadde ba Corona Virus gweyongedde nga baweze 158 oluvanyuma lw’okuzuula abalwadde abalala 16.