Poliisi ekedde mu ddukadduka n’abasuubuzi, abakedde okutambuza emirimu gyabwe mu Katale k’e Mbale Central Market akagaddwa, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.

Mu lukiiko lwa Disitulikiti olwalondeddwa, okuteeka mu nkola ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga nga lukulembeddwamu RDC we Mbale Sulaiman Barasa Ogajo, lwagaddewo akatele olw’okulemwa okuteeka mu nkola ebiragiro omuli okunaaba mu ngalo ssaako n’okutangira abantu abangi mu Katale.

Enkya ya leero, Poliisi ebadde ekulembeddwamu addumira Poliisi y’e Mbale Fred Ahimbisbwe bakedde ku miryango egiyingira akatale okulemesa abasuubuzi okuyingira, ekivuddeko okusika omuguwa.

Abasuubuzi, batabukidde Poliisi nga bagamba nti okubalemesa okukola, kigenda kuviirako ebintu byabwe okuvunda omuli emmere, ennyanya, enva endirwa ssaako n’ebintu ebirala.

Embeera, ewaliriza Poliisi okweyambisa omukka ogubalagala okugugumbula abasuubuzi ssaako n’amasasi mu bbanga era omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Elgon, Rogers Taitika agambye nti abasuubuzi bonna baategezeddwa okusigala awaka okutuusa ku Lwokuna kyokka balaze nti basukkiridde emputu.

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yakiriza abasuubuzi abatunda emmere okusigala nga bakola kyokka mu kiseera kino omujjuzo gweyongedde mu butale, ekiyinza okuvaako Corona Virus okusasaana era y’emu ku nsonga lwaki akatale k’e Mbale kagaddwawo ne Kalerwe.