Abasawo basatu (3) mu disitulikiti y’e Bukomansimbi, bayingidde olunnaku Olwomukaaga nga bali mu Kalantini, olw’okutya nti bayinza okuba balina akawuka ka Corona Virus akafuuse ensonga mu nsi yonna.

Kigambibwa, abasawo baaliko n’omu ku balwadde 4 abazuuliddwa mu bitundu bye Masaka nga balina Kolona.

Omulwadde yabadde mutuuze mu bitundu bye Kalangala ng’alina Oluganda ku musawo omu ate nga baaliko naye gye buvuddeko.

William Kalende omu ku bali ku nsonga y’ebyobulamu mu disitulikiti y’e Bukomansimbi, agambye nti abasawo baakebeddwa nga balamu kyokka balina okumalayo ennaku 14 nga bali mu Kalantini, okuddamu okubekebejja era mu kiseera kino buli omu ali makaage.

Mungeri y’emu agambye nti eky’abasawo 3 okuba ab’emikwano nga bakolera wamu y’emu ku nsonga lwaki bonna basindikiddwa mu Kalantini.